@ntvugandaparody: Akulira ekibiina ki National Unity Platform Robert Kyagulanyi Ssentamu leero asiibye mu disitulikiti e Kakumiro ne Kikuube ng’awenja kalulu akanamutuusa mu ntebe y’obukulembeze bw’eggwanga.Wabula ono asanze okusomoozebwa n’abebyokwerinda, Poliisi bwetadde enyonyi yaayo Nnamunkanga mu kisaawe w’abadde alina okukuba olukung’ana kko n’abaserikale abawanvu n’abampi.Kyoka kino tekirobedde bawagizi be kugenda mu kifo kino , ekiwaliririzza poliisi okupondooka. #NTVNews #Akawungeezi